Parlaiment etaddewo omusolo gwa value added Tax ku kampuni engwira zonna ezokumutimbagano bannayuganda zebalinako ebibanja. Kampuni ezinokoddwayo eziteereddwako omusolo guno ,kuliko Ali express, E-Bay, Amozon, Netflix, Facebook, Twitter ne google....
Abaakwasibwa omulimu gw'okutambuza amaguta okuva mu Uganda mu district ye Hoima okutuuka mu bitundu bye Tanga mu Tanzania basuubizza nti mu bbanga lya myezi 7 okuva kati bakutandika okusima amafuta...
Obwakabaka bwa Buganda butongoza bboodi empya eya kkampuni y’essimu eya K2 Telecom ejjudde. Omulangira Arthur Mawanda alondeddwa nga Ssenkulu waayo ate Omukungu Sekabembe William ye ssentebe wa bboodi eno. Omulangira...
Bannanyini business ezenjawulo mu district ye Gomba batendekeddwa ku ngeri gyebayinza okuganyulwa mu nteekateeka ey'okusima omudumu ogugenda okutambuza amafuta okuva mu bitundu ebye Bunyoro okutuuka mu Tanzania. Ekitongole kyeby'amafuta mu...
Omwoleso gwa CBS PEWOSA Nsindikanjake ogukulungudde ennaku 5 nga guyindira mu Lubiri e Mengo guggaddwawo. Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yagugaddewo n'asaba abantu...