Abasuubuzi abakedde okutunda eby’amaguzi ku nguudo z’ekibuga Jinja basanze abasirikale baayiiriddwa mu bungi, era tebabakkiriza kulenga mmaali yabwe.
Akanyoolagano kabadde k’amaanyi wakati wa police n’abasuubuzi abawalazza empaka.
Ebyamaguzi byabwe biboyeddwa nebitikkibwa ku kabangali za police.
Abaddukanya akatale aka Jinja Central market nga bakulembeddwamu Busuulwa Charles bawadde amagezi eri abasuubuzi ababadde bakolera ku nguudo, nti bagende bafune emidaala mu katale munda, era nebasaba n’abakulira Jinja City obutaddamu kukkiriza bantu kukolera ku nguudo.
Bisakiddwa: Kirabira Fred