Embalirira y’ensimbi ey’omwaka ogujja 2023/2024 eya trillion 52.7 esomwa leero mu kisaawe e Kololo.
Abakugu mu kutaputa embalirira y’e ggwanga bagamba nti embalirira yómwaka ogujja ewa essuubi nti ebyenfuna bya banna Uganda byandyongera okulongooka, singa banagoberera ensimbi eziteereddwamu okukulakulanya abantu babulijjo nezitabbibwa bakungu mu government
Embalirira egenda okusomwa minister Matia Kasaija ya trillion 52.7 nga yeyongeddeko bwógerageranya nembalirira yómwaka gwébyensimbi 2022/2023 eya trillion 48.1.
Mu mbalirira y’omwaka ogujja eyayisibwa parliament, ebyókwerinda byebisinze okutekebwamu ensimbi enyingi trillion 3.8, UNRA ewereddwa trillion 2.4, ministry ye byénsimbi ewereddwa trillion 2.4, ministry yebyobulamu ewereddwa trillion 1.6 nga bino bye bitongole ebisinze okufuna ensimbi ennyingi.
Ssenkulu wékitongole ki CSBAG ekirondoola embalirira ye ggwanga Julius Mukunda agamba nti embalirira yómwaka ogujja etereddwamu ensimbi eziruubirira okukulakulanya abantu ababulijjo ekiwa essuubi nti ebyenfuna bya banna Uganda bigenda kweyongera, singa tezibulankanyizibwa.
Omubaka wa Kabula mu palamenti Enos Asiimwe agamba nti ebyenfuna bya Uganda bisuubirwa okwongera okukula songa ne misolo egitereddwa mu mbalirira tegigenda kunyigiriza muntu wawansi.
Kyoka ye Dr Fred Muhumuza omukugu mu byénfuna agamba nti ensimbi ezisinga zigenda kusasula mabanja ekiyinza okuletera ebyenfuna okukaluba mu mwaka gwébyensimbi ogujja.
Bikunganyiziddwa: Wasajja Mahad