Abasuubuzi bannauganda abaali bakolera mu South Sudan nebaddukayo olwobutabanguko obwaliyo mu mwaka 2013, bawadde government nsalesale wa wiiki 2 zokka ng’ebasasudde ensimbi zabwe.
Abasuubuzi bano nga bakulembeddwamu ssentebe wabwe Rashid Manafa ,basinzidde mu nsisinkano ne bannamawulire ebadde ku kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo, nebategeeza nti bennyamivu olw’ebisuubizo bya president Museveni ebitatuukirizibwa.
Rashid Manafa agambye nti kiruma okulaba nga government ereka bannansi ba South Sudan okwegiriisiza kuno nebagula ettaka n’amayumba agatemagana ng’abantu , kyokka nga bbo abaali banoonya ekikumi mu South Sudan ebintu byabwe nebitwalibwa tebalowoozebwako.
Omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala Isa Ssekitto, awadde president Museveni amagezi addemu ayite akakiiko akassibwawo okulondoola ensonga z’abasuubuzi abafiirwa emmaali yabwe mu South Sudan, akaali kakulemberwa Mwiine Mpaka, kannyonyole ensonga zabwe wezaakoma.
Ssekitto mungeri yeemu ayagala president Museven addemu ayite abasuubuzi bonna abafiirwa emmaali mu butabanguko obwali e South Sudan,era nategeeza nti okusasulako abasuubuzi abamu ate abalala nebatasasulwa kabonero kankukunala akooleka obutali bwenkanya.
Omu ku basuubuzi abaasimattuka okuttibwa Achiro Hellen, awanjagidde abakulu mu paliment ne government yonna balowooze ku mbeera abasuubuzi abataaliyirirwa mwebayita ensangi zino, n’emmaali yabwe eyabbibwa.
Bisakiddwa: Kato Denis