Abakulembeze ba district ye Kassanda balajaanye nti ekyobugagga kya Zaabu asimibwa mu birombe ebiri mu district ye Kassanda tebakiganyuddwamu nga district.
Ssentebbe wa district ye Kassanda Fred Kasirye Zimula nebakulembeze banne mu district eno, okwemulugunya kuno bakutuusizza eri akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba mu nsisinkano gyabaddemu nabo ku kitebbe kya district eno eye Kassanda.
Okusinziira ku Ssentebe Fred Kasirye Zimula ensimbi zonna eziva mu zaabu, zitwalibwa kampuni n’abantu wamu ne ministry y’ebyobugagga eby’ensibo, nga yo district netasigazaako wadde.
Agambye nti emyaka egiyise bazze basaba ministry y’ebyobugagga ebyensibo ebeeko omugabo gwebawa ku nsimbi eziva mu zaabu ono wabula nga butereere.
Awadde ekyokulabirako nti kumpi buli lunaku zaabu abalirirwamu akawumbi ka shs 1 nekitundu yafuluma district ye Kassanda , wabula district eno terina yadde ennusu gyefunako.
Akulira oludda oluvuganya government Mathias Mpuuga Nsamba agambye nti obutali bwenkanya buno n’obulyazaamanya byebimu ku byebalina okukolera awamu ng’abakulembeze okulwanyisa.
Mpuuga agambye nti waliwo akabondo kabantu mu ggwanga lino, balumiriza nti bebali emabega wokusima zaabu ono ate tebawa musolo.