Obwakabaka busabye abantu abali mu bibiina by’obwegassi okukozesa ssente zebewola okuzissa mu bintu ebibakulaakulanya balekeraawo okwejalabya.
Okusaba kuno kukoleddwa minister omubeezi ow’obwegassi,Obulimi n’obulunzi mu bwa Kabaka bwa Buganda Owek Haji Amis Kakomo.
Abadde ku mukolo ogwa Taabamiruka wa Busiro Cbs PEWOSA Sacco ow’omulundi 3, abadde Kyengera mu Ssaza Busiro.
Busiro CBS PEWOSA Sacco yatandiikibwawo nekigendererwa eky’okukulakulanya abantu ba Ssabasajja Kabaka okuyita mukwewola n’okutereka ensimbi.
Kyatandiika ne bamemba 35 nga kati bali bamenba 1460, begattira mu bibiina by’obwegassi ebisukka mu 500, nga baweza emigabo gya bukadde bwa shs 530.
Owek Kakomo mu ngeri yeemu asabye abakulembeze mu biibina by’o bwegassi okuggya emirimu mu woofisi bagende mu bantu bebaweereze nga babawa emisomo , n’okwongera okubaagazisa byebakola.
Akulira olukiiko olukulembera Busiro CBS PEWOSA Sacco Omuk Joseph Magala Nyago asabye bamemba okujjumbira okugula emigabo , era naabakuutira okuzza sente ezibeera zibawoleddwa mu budde basoboole okuwola abalala.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza era nga memba kuvlukiko olukulu olwa Busiro Sacco agamba nti sacco eno eyambye nnyo okukuuma obumu mu banna Busiro n’okubakulakulanya.
Ssenkulu wa Busiro CBS PEWOSA Sacco Nanyanzi Maureen ategezezza banna Busiro nti balina enteekateeka ezenjawulo ezitereddwawo okukulakulanya ba memba, era n’abasaba okuzenyigiramu n’okukunga banna Busiro okwenyigira mu Sacco yabwe.
Bisakiddwa: Nakato Janefer
Ebifaananyi: MK Musa