Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti kye kiseera okwongera okuteekerateekera abavubuka mu Uganda, kubanga bebasinga obungi n’ebitundu 70%.
Katikkiro agamba nti abavubuka bwebabeera tebalina mirimu ensi teyinza kutereera,teyinza kugwamu bwavu, teyinza kugwamu bumenyi bw’amateeka
Yabyogedde aggulawo mu butongole ebbanguliro ly’abavubuka erya Greater Masaka presidential Industrial Hub.
Ebbanguliro lino lisangibwa mu Ndegeya, Nyendo – Mukungwe Division Masaka city.
Ebbanguliro lino lyatandikibwawo amaka g’obwa president n’ekigendererwa eky’okubangula abavubuka okukuguka mu mirimu gy’emikono.
Katikkiro agambye nti omukisa mpewo, tegwogera naye gubeerawo ebbanga lyonna, nga olina okubeera n’enyindo eguwunyiriza, amaaso agagulaba, n’amatu agaguwulira.
Akubirizza abavubuka abatendekebwa mu bbanguliro lino okussa omwoyo kwebyo ebibatendekebwamu, ate beabamaliriza bagende batandike okukola n’amaanyi.
Agambye nti eby’enkulakulana tebyetaagamu kusosolamu ddiini, bya mawanga wadde eby’obufuzi.
Asabye ababaka ba president obutayingiza bya bufuzi mu nteekateka eno naddala mu kuyingiza abavubuka abatendekebwa mu Bbanguliro lino.
Eyaliko Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga nga Kati ye mubaka ow’enjawulo ow’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, asayukidde Enteekateka Eno nagamba nti egenda kuyamba abavubuka okulwanyisa ebbula ly’emirimu.
Omwami wa Ssabasajja owe Saza lye Buddu Pokino Jude Muleke yebazizza Katikkiro okubeerera Obuganda ettaala, n’amuyozaayoza olw’emyaka 10 ng’akutte DDAMULA.
Pokino asabye abakulira ebbanguliro lino okukolagana n’abakulembeze bonna ABA DP, NUP, DP n’abalala bonna
Avunanyizibwa kuby’ensimbi mu Maka g’obwa President Jane Barekye agambye nti lino lye limu kumabanguliro 19 agali mu gwanga lyonna, nga lirimu ebitundu 4 omuli ebyemikono(skilling), okugatta omutindo ku bikolebwa, ebyobulimi n’ebirala.
Omukolo gwetabiddwako amyuka ssentebe wa NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi, Minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye, ba RDC, Abakulembezr mu districts eza greater Masaka, abatwala ebyokwerinda n’abalala.
Bisakiddwa: Tomusange Kayinja