Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe mu butongole agguddewo ekizimbe ky’ebyobusuubuzi eky’abawuliriza ba CBS ettabi ly’e Katwe.
Mu Ngeri yeemu atemye n’evvuunike ly’ekizimbe ekirala nga byonna bisangibwa Nnamagoma mu Busiro.
Abeebazizza olw’obumu n’okwagala ennyo CBS n’okuwulira byebagamba.
Ssentebe wa Katwe CBS fans club, Nsambu Joseph yebazizza nnyo CBS olw’okubazimba n’eyeeyama ku lwabanne okwongera okuwuliriza Radio ya Kabaka.
Ssendyowa George ssentebe wa Kyadondo CBS fans club agambye nti Program za CBS enteeketeeke obulungi zezibakumaakuma okwewaayo okukola ennyo n’okukuuma obumu, nga baluubirira okwekulaakulanya.
Ekizimbe ekigguddwawo ky’amizigo egipangisibwa mwebasuubira okufuna ensimbi.
Baasazeewo okukiggulawo leero nga 22 June 2023, ng’ekijjukizo kya CBS FM okuweza emyaka 27 ku mpewo z’ebyempuliziganya.
Cbs yagenda ku mpewo nga 22 June ,1996.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen