Olukiiko okukulembera Makindye Ssabagabo municipality luddukidde mu kooti ento e Makindye, lwagala ebawe olukusa okweddiza ebizimbe by’abatuuze abasoba mu 3000, abalemereddwa okusasula omusolo ogwagerekebwa ku bizimbe byabwe ebyóbusuubuzi kati ebbanga lya myezi 10 egiyise.
Abakulembeze ba Municipality ya Makindye Ssabagabo lwagereka omusolo ogwe bizimbe ebitundu 6% ku bizimbe ebyóbusuubuzi byonna mu kitundu kyokka abamu kubannyini bizime bino baludde nga bayitibwa okusasula omusolo guno nga tebafaayo
Emmanuel Kato Batemyetto omuwaabi wa Municipality ye Makindye Ssabagabo ategezezza nti ensimbi zino ezaali zisuubirwa okuva mu bizimbe ebyo zaali zaagerekebwa okukola ku nguudo, amalwaliro nókutuusa obuweereza ku bantu kyokka mukaseera kano byonna byazingama.
Wabula abamu kubannyini bizimbe beekubidde enduulu eri abakulembeze ebe kitundu kino okubaddiramu.
Wabula akulira ebyensimbi ku lukiiko olukulembera Makindye Ssabagabo municipality Walakira Fisal ategezezza nti enteekateeka eno tegenda kukoma, okutuusa nga bannyini bizimbe bino basasudde ezimu ku nsimbi ezibabangibwa.
Bisakiddwa: Ssebuliba William