Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibalo n'emiwendo ekya Uganda Bureau of Statistics, (UBOS), kifulumizza alipoota eyenkomeredde eraga ebyava mu kubala abantu omwaka oguwedde 2024, nga banna Uganda abasoba mu kakadde kamu nekitundu...
Ebintu ebitannamanyika muwendo bitokomokedde mu nnabbambula w'Omuliro akutte Ennyumba z'Abantu ku kyalo Lokwamoru mu gombolola ye Lorengedwat mu district ye Nabiratuk e Karamoja. Omuliro guno ogukutte ku ssaawa musanvu n'ekitundu...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggulirawo Abantube Omwaka 2025 mu Lubiri lwe e Mengo, mu bweesedde n'Obweesedde bw'Abantu abajjumbidde Enkuuka Masavu 2024. Empologoma mu bubaka bwayo yebazizza abantu...
Bannauganda abatanamanyibwa muwendo mutuufu, abawangaalira mu United Arab Emirates nga tebalina biwandiiko byassalira ebibakkiriza okubeera mu ggwanga eryo bali mu kattu, olwa nsalesale eyabaweebwa okutereeza ebiwandiiko byabwe okuba nti agwako...
Ekrezia katulika mu Uganda ekkuziza olunaku lw'amaka amalungi, emikolo gibadde ku kiggo kya Holly Family Catholic Church e Namayumba mu Wakiso. Abafumbo balabuddwa ku nsonga y'okweyisa mu ngeri etajja nsa...
Akabenje kagudde ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga mafiiriddemu omumyuuka wÓmubaka wa president mu district ye Budaka Hajat Nusula Nabukalu. Mmotoka ya government No. UG 4803C mw'abadde atambulira...
Ekkanisa ya Uganda ekkuzizza olunaku Kabaka Kerode lweyattirako abaana abato abaali baakazaalibwa, oluvannyuma lw'okuwulira amawulire g'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo era nga naye yali ayagala kumutta, nga luno lukuzibwa buli ennaku...
Oluguudo lwa Nothern Bypass mu Kampala lutandise okuddaabirizibwa leero nga 28 December,2025, lwakumalirizibwa mu emyezi 6. Ekitundu ekigenda okukolrbwa kiweza kilomenter 20. Minister w'ebyentambula n'enguudo General Edward Katumba Wamala agambye...