Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibalo n’emiwendo ekya Uganda Bureau of Statistics, (UBOS), kifulumizza alipoota eyenkomeredde eraga ebyava mu kubala abantu omwaka oguwedde 2024, nga banna Uganda abasoba mu kakadde kamu nekitundu tebalina maka mwebasula.
Alipoota eraze nti mu Uganda mulimu amaka obukadde 10, 698,913, era nga wakiri buli maka mulimu abantu 4 ku 5 omugatte.
Abantu obukadde 44, 387,526 bebalina amaka amatongole webasula, ssonga abantu abalala 1,517,891 tebalina maka matongole webasula.
Alipoota eno envanyuma eyongedde okukaatiriza nti omuwendo gw’abantu mu Uganda gusinga kuba gwabaana abatasukka myaka 18, bali obukadde 22,750,701.
Abavubuka wakati wemyaka 18-30, bali obukadde 10, 76 9,151.
Abakadde abasukka emyaka 60 bawera obukadde 2,290,144.
Abantu abakulu abali mu myaka ejikola okuva ku myaka 31 okutuuka ku myaka 59, bali obukadde 12,385,565, bwobagatta n’abavubuka abakola baweza omuwendo gwabantu obukadde 23,154,714.
Alipoota eraze nti abaana abasoma wakati wemyaka 3 ne 24 bawera obukadde 25, 16 3,425 kubano kuliko abali mu myaka gya kaabuvubuka wakati w’emyaka 10 ne 19 bawera obukadde 11, 404,639.
Abakyala oba abawala mu myaka ejizaala wakati we 15 ne 49, bawera obukadde 12 ,181,200.
Omuwendo gw’abantu mu Uganda gukendedde emisinde kwegukulira buli mwaka, okuva ku bitundu 3 okukka ku bitundu 2.9% mu bbanga ery’emyaka 10 egiyise.
Abaana abasoma omutendera gwa pre-primary wakati wemyaka 3 ku 5 mu Uganda bali obukadde 4,10 9,773.
Aba primary wakati w’emyaka 6 ku 12 bawera obukadde 8, 57 1,805 ate abali mu secondary wakati wemyaka 13 ku 18, bali obukadde 6, 55 7,331.
Alipoota eyongedde okukaatiriza nti abakatuliki bebasinga obungi bali obukadde 16, 612,537 ate abakulisitaayo mu kanisa ya Uganda bali obukadde 13, 311,801, abalokole bakwata kyakusatu n’omugatte gwabantu obukadde 6, 543,195, olwo abasiraamu nebadako n’omugatte gw’abantu obukadde 6,501,317.
Aba seventh day Adventist bali emitwalo 911,153, aba Orthodox bali emitwalo 60 5,150 abenzikiriza yennono n’obuwangwa (Traditional faith), bali emitwalo 56,332 ate abakiriziriza mu Jehovah’s Witness bali emitwalo 46,147 ate abatalina nzikiriza bali emitwalo 85,559 olwo abantu emitwalo 704,334 banzikiriza ezenjawulo entongole, omuli aba Hindu nendala.
Alipoota eraga nti ku banna Uganda abasoba mu bukadde 45,900,000 abantu abasussa emyaka 10, baawera obukadde 23, 18 1,629 era baasomako.
Obukadde 4, 571,698 baasoma okusukka omutendera gwa secondary.
Obukadde 8, 926,219 baakoma mu primary.
Abantu 1,710,492 tebaasoma kutuuka ku mutendera gwa primary.
Bisakiddwa: Ddungu Davis