Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggulirawo Abantube Omwaka 2025 mu Lubiri lwe e Mengo, mu bweesedde n’Obweesedde bw’Abantu abajjumbidde Enkuuka Masavu 2024.
Empologoma mu bubaka bwayo yebazizza abantu Olw’omukwaano n’Essaala.
Ssaabasajja asiimye nakwasa Omuzira mu Bazira 2024 Kizito John Lukoma asibuka mu Ssaza Kyaddondo mu gombolola ya Mutuba III Makindye ne Kizito George William Omuzira mu Bazira w’Entanda Diaspora abeera e Qatar.
Bombi bazira Mmamba baweereddwa ebirabo omubadde 5, pikipiki,Ebyapa by’Ettaka era nebasiimibwa.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter, asinzidde mu Lubiri n’akkaatiriza nti Ssaabasajja buli lw’Alabwako liba Ssuubi na Ssanyu eri Abantube, bwatyo naasaba emiramwa Beene gyeyataddeko essira bagyekkaanye nnyo.
Katikkiro atenderezza Radio ya Beene CBS olw’Okusitula Omutindo gw’Olulimi Oluganda n’Okulwanirira Obuwangwa n’Ennono.
Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe mu bubakabwe yebazizza gavumenti ya Beene olw’okulambika okusukkulumu eri Obuganda, wamu n’Okweebaza Ekitongole kyebyempuliziganya ki UCC olw’okuddiza Radio ya Beene layisinsi.
Abayimbi okubadde Omusiime Mathias Walukagga, Palaso , Misarch Ssemakula,Hajji Haruna Mubiru ne Big Eye bayimbidde Ssaabasajja n’Abantu be mu Nkuuka, era nebeebaza olwomukisa ogubaweereddwa.
Enkuuka Masavu 2024 ewagiddwa Uganda Breweries limited, CBSFM,BBS Terefayina ,Uganda AIDs commission,Hema Natural mineral water, PEPSI, Movit ,MTN , Mwaanyi Terimba limited ,Operation Wealth Creation n’abalala bangi.
Ssaabasajja awerekeddwako Abalangira n’Abambejja,Bannaalinnya, bannabyabufuzi mu gavumenti ne ku ludda oluvuganya gavumenti.
Bisakiddwa: Kato Denis