Oluguudo lwa Nothern Bypass mu Kampala lutandise okuddaabirizibwa leero nga 28 December,2025, lwakumalirizibwa mu emyezi 6.
Ekitundu ekigenda okukolrbwa kiweza kilomenter 20.
Minister w’ebyentambula n’enguudo General Edward Katumba Wamala agambye nti ekitundu ky’oluguudo ekikolebwa kiri wakati wa Kisaasi n’enkulungo ye Busega nga kiwezaako kilometer 20, era nga ye phase y’oluguudo luno eyasookera ddala okukolebwa.
Minister Gen Katumba Wamala agambye nti ministry y’ebyentambula agenda kukolera wamu ne police Saako kampuni egenda okuddaabiriza oluguudo luno eya Stirling civil engineering limited okukwasaganya ebidduka ebiyita ku luguudo olwo.
Minister asabye abagoba b’ebidduka bagoberere okulungamizibwa okunaabaweebwa
Kinnajjukirwa nti oluguudo olugenda okuddaabirizibwa lwazimbibwa wakati w’omwaka 2004 ne 2009, lwavujirirwa ommukago gwa Bulaaya, European Union
Okuddaabiriza oluguudo lwa Northern by pass olukadde, gwemulimu ministry yebyentambula gwegenda okusookera ddala okukola, okuva ekitongole ki UNRA lwekyajjiddwawo obuvunanyizibwa bwekibadde kikola nebussibwa mu ministry y’ebyentambula .##