Ekkanisa ya Uganda ekkuzizza olunaku Kabaka Kerode lweyattirako abaana abato abaali baakazaalibwa, oluvannyuma lw’okuwulira amawulire g’okuzaalibwa kwa Yesu Kristo era nga naye yali ayagala kumutta, nga luno lukuzibwa buli ennaku z’omwezi 28 December.
Ku lunaku luno abazadde basabiddwa okuteeka essuubi mu baana babwe baleme okugujjubanira ebintu by’ensi nebava ku Katonda .
Rev. Ssalongo James Lubega Musisi omusumba w’Obusumba bwe Bbira Church of Uganda mu busaabadinkooni bwe Nateete mubulabirizi bwe Namirembe, asinzidde mu kusaba kwokujjukira olunaku luno mwabattiriza n’abaana.
Asabye abazadde okwongera amaanyi mukukuliza abaana babwe mukutya Katonda okusinga okubaleka nebagobagana n’ebintu byensi .
Rev. Lubega mungeri yeemu ayambalidde abakulembeze olw’okukozesa obubi obuyinza Katonda bwabeera abawadde ate nebatulugunya abalala olw’okuba balina amaanyi g’emmundu .
Elly Kasirye omuwanika w’Obusumba buno obwe Bbira era nga ye ssentebe wakakiiko keddembe ly’obuntu mu Wakiso, naye asinzidde mu kusaba kuno mwabatirizza abaana be, nasaba abakulembeze okutwala ekyokulabirako ekya Yesu Kristo nga bakulembeza omuntu wa bulijjo, mubuwereza bwebakola eri bannauganda.
Bisakiddwa: Ngabo Tonny