Omubaka wa paapa eyawummula Ssabasumba Augustine Kasujja asoomozeza bannaddiini abamu abatandise okuva ku mulamwa gw’ekigambo kya Katonda nebatandika okuyingira mu byobufuzi ebyawulayawula mu bantu .
Ssabasumba Kasujja abadde akulembeddemu ekitambiro kya mmisa e Kisubi ku kigo kya Sisters of the Immaculate heart of Mary Repataetrix e Ggogogonya.
Ku mukolo guno aba sister abawerera ddala 8 bakubye ebirayiro byabwe ebyolubeerera , ate 4 kubbo nebajaguza emyaka 60, battaano nebajjaguza emyaka 50 kwosa balala babiri abawezeza emyaka 25 mububikira
Ssabasumba Kasujja mungeri yemu avumiridde ne ttemu erisuukiridde wamu n,abantu abattatana ekitiibwa kyabalala nga baboogerera ebitaliko mitwe namagulu .
Sister Dr.Maria Sepiranza Namusisi Nankulu wekibiina kya basisiter abomutima omubeererevu Maria Omuddaabirizi owe Ggogonya akubirizza abazadde obukkiriza okuwaayo abaana babwe bayingire obusiisita, begatte kuggye erinaasobola okulwanyisa nookukendeeza ku bikolwa ebyekko ebiyittiridde mu ggwanga .
Mungeri yemu ssentebe wa district ye Wakiso Dr Matia Lwanga Bwanika naye asinzidde ku mukolo guno naasiima omulimu ogukolebwa bannaddiini muggwanga nga balwanirira obwenkanya n’okutumbula obuntu bulamu mu bannansi .
Ekitambiro kya missa kino kyetabiddwako Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala Paul Ssemogerere, Omusumba w’essaza lye Kiyinda Mityana era nga ye ssentebe wabepisikoopi mu Uganda Bishop Anthony Zziwa nebannadiini abalala bangi
Bisakiddwa: Tonny Ngabo