Ekrezia katulika mu Uganda ekkuziza olunaku lw’amaka amalungi, emikolo gibadde ku kiggo kya Holly Family Catholic Church e Namayumba mu Wakiso.
Abafumbo balabuddwa ku nsonga y’okweyisa mu ngeri etajja nsa ekibaviirako okuttattana ekitiibwa ky’obufumbo nebabutamya abavubuka.
Ku mukolo gwegumu abaana abawerera ddala 120 beefunidde esakalamentu lya Kofirimansiyo.
Bw’abadde akulembeddemu ekitambiro kya misa Msgr Dr. Lawrence Ssemusu agambye nti ebisinze okutta amaka bebafumbo okwekola obusolosolo mulujjudde, n’okwagala okweraga eryanyi ku njuuyi zombi.
Msgr Ssemusu mu ngeri yeemu era asabye abakristu nti nga bwebeefumiitiriza ku lunaku luno bongere amaanyi mukunyweeza ekitiibwa ky’amaka wamu n’okulaba nga bakuza ekitundu kyebawaangaaliramu.
Bwanamukulu w’ekigo kino Rev. Fr. Denis Ssebugwawo akubirizza abazadde okuyambako abaana abafunye esakalamentu lya kofirimansiyo okusigala nga banywedde munzikiriza yekikatoliki okusinga okulekebwa awo nebawuggulwa omuyaga .
Bisakiddwa: Ngabo Tonny