Bannauganda abatanamanyibwa muwendo mutuufu, abawangaalira mu United Arab Emirates nga tebalina biwandiiko byassalira ebibakkiriza okubeera mu ggwanga eryo bali mu kattu, olwa nsalesale eyabaweebwa okutereeza ebiwandiiko byabwe okuba nti agwako olunaku olwenkya nga 31 December,2024.
United Arabs Emirates yawa nsalesale oyo abagwiira abatalina biwandiiko ebibakkiriza okubeera n’okukolera mu ggwanga eryo, okwabulira eggwanga eryo.
Nsalesale ono yatandiika ngennaku zomwezi 1 omwezi ogwa December okutuuka ngennaku zomwezi 31 December, era bangi basobeddwa tebamanyi kyebazaako.
Bannauganda abasoba mu 100,000 bebakolera nokuwangaalira mu united Arab Emirates, wabula bannauganda abali eyo mu mitwalo 25,000 kiteberezebwa nti bebatalina biwandiiko byassalira.
Kuliko abaagenda okukuba ekyeyo nga bayita mu kampuni ezitwaala abantu okukuba ekyeyo wabula nebadduka gyebwatwaalibwa okukolera, waliwo abalala abetwalayo, abalala baagendera ku visa z’obulambuzi n’ebirala.
Omuwabuzi wa president wa Uganda ku nsonga za bannauganda abawangaalira ebunaayira, Ambassador Abbey Walusimbi, mu kiwandiiko kyafulumizza, ewadde bannauganda amagezi abagwa mu ttuluba lyabo abalemereddwa okutereeza ebiwandiiko byabwe okudda ku butaka e Uganda, okwewala ebizibu ebiboolekedde nga nsalesale aweddeko.
Bannauganda abasobeddwa abawadde amagezi okukwatagana n’ebitebe bya Uganda mu Abu Dhabi ne Dubai saako offiisi yobwa president okuyita mu offisi yomuwabuzi wa president ku nsonga zabannayuganda abawangaalira ebunaayira,okulaba engeri yokuyambibwamu
Wabula kigambibwa nti bangi kwabo abalemeddwa okutereeza ebiwandiiko byabwe ate era balemeddwa okufuna visa n’ensimbi ezibasobozesa okudda mu Uganda, tebalina passports ezimu zagwaako endala zaabula.#