Akabenje kagudde ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga mafiiriddemu omumyuuka wÓmubaka wa president mu district ye Budaka Hajat Nusula Nabukalu.
Mmotoka ya government No. UG 4803C mw’abadde atambulira etomereganye bwenyi ku bwenyi ne lukululana No. KDH 025V
Akabenje kano kaguddewo ku ssaawa 11 ez’akawungeezi nga 29 December,2024 mu kitundu kye Waitambogwe mu district ye Mayuge.
Ababaddewo ng’akabenje kano kagwawo bategeezezza nti Hajjat Nusula afunye ebisago bya maanyi nnyo mu kabenje kano, kyokka tewabaddeewo ataasa kumuddusa mu ddwaaliro nga bukyali.
Omubiri gwÓmugenzi gutwaliddwa mu ggwanika lyÉddwaliro lya Jinja Regional Referral, gutwaliddwayo Omubaka wa president mu district ye Bugweri Magala Banuli.
Police etandise okunoonyereza ekivuddeko kabenje kano.#