Abantu 20 bafiiridde mu kabenje akagudde mu bitundu bye Fortportal, bus ya kampuni ya Link UAB 003 S mwebabadde batambulira eremeredde omugoba waayo neegwa....
Dr.Sam Kazibwe munnamawulire wa CBS Munnamawulire wa CBS era omukubiriza wa program Londoola ensonga ne program Kalabaalaba, Dr. Sam Kazibwe aweereddwa engule eya munnamawulire asinga okunoonyereza...
Mu bbanga lya myaka etaano egiyise,government yakasaasaanya shilling obuwumbi 677, okusasula ensimbi z'obupangisa ku bizimbe byobwannanyini ebikolerwako ebitongole bya government. Bino biri mu alipoota eyakoleddwa oludda oluvuganya government mu parliament,...
Bannamawulire mu Uganda bagala ebitongole ne kampuni ezikwatibwako, okwekubamu tooci bigonjoole ensonga ezizze zinokolwayo mu kulinnyirira eddembe lya bannamawulire. Ebitongole ebiri ku mwanjo mwemuli ebyokwerinda, ne kampuni ezikozesa bannamawulire, omuli...
Supreme Mufti Muhammad Galabuzi ali wakati ng'abuuza ku baddu ba allah oluvanyuma lw'okusaala idd e Kibuli Okusaala Idd ku muzikiti e Kibuli kukulembeddwamu Sheikh Yasin Kiweewa...
Okusaala Idd el-fitri mu Uganda mu mizikiti egy'enjawulo,kusinze kwetoololera ku kusabira emirembe mu ggwanga, n'ebbeeyi y'ebintu eyekanamye. Abaddu ba Allah bategezezza nti ebbeeyi y'ebintu ebakaluubirizza nnyo nga basiiba omwezi omutukuvu...
Radio ya CBS FM ng'eri wamu ne banywanyi baayo abakampuni erunda enkoko eya Capital Chicken okuva e Kamwokya ne Mandera group of companies bawadde abaddu ba Allah okuva mu muzikiti...
President Yoweri Kaguta Museven Tibuhaburwa asabye bannauganda obutagezaako kusibira kikoookolo bamusiga nsimbi abagwira,nti kubanga bakoze ky'amaanyi okutonderawo bannauganda emirimu.President Museven asuubizza nti n'endagaano y'emmwanyi government gyeyakola ne kampuni ya Vinci...
Ente za Iddi Lord mayor z'atwalidde abasibe be Kitalya Bya Lubega Mudashiru Lord mayor wa Kampala Ssalongo Hajji Erias Lukwago aganiddwa okulaba abasibe babadde atwalidde ebintu...