Bya Lubega Mudashiru
Lord mayor wa Kampala Ssalongo Hajji Erias Lukwago aganiddwa okulaba abasibe babadde atwalidde ebintu bya Eid Elfir, n’okubakulisa okumalako obulungi omwezi gwa Ramathan.
Erias Lukwago abadde abitutte mu mukomera e Kitalya mu district ye Wakiso.
Abadde atutte Ente 2 , amatooke ne bintu ebirala.
Akulira ekkomera lye Kitalya Hamidu Hussein Ayemundu amutegezezza nti abadde talina kiwandiiko kyonna kuva eri bakamabe, ekiraga nti omuloodi abadde wakukyaliko abasibe abasiraamu olwa leero okubaako ebintu bya Iddi byabatwalira.
Wabula Lord mayor amutegezezza nti yawandiikira Commissioner avunanyizibwa ku mbeera z’abasibe mu makomera gonna mu ggwanga Nantale Juliet,era era abalaze n’ebbaluwa gyeyamuddamu nga bamukkiriza okubakyalira.
Ebbaluwa eyaddibwamu ebadde eraga nti ne OC Hamidu Husein yamuwebwako.
Wabula OC Hamidu akalambidde nagaana, ekiwalirizza Lukwago okukubira omwogezi wa makomero Frank Baine namutegeza ensonga.
Kitegerekese nti Baine naye akubidde Commissioner Nantale Juliet ne OC Hamidu olwo nebamukkiriza okuwayo ebintu byaleese wakati mu bukwakulizo.
Takkiriziddwa kwogera na musibe yenna wadde omurikale ali mubbyambalo bya makomera.
Ebintu ebikwasizza OC Hamidu nategezeza nti wakubituusa eri abasibe abasiiramu, ne bannamawulire baweereddwa obudakiika butono ddala okukwatq ebifaananyi nga lord mayor awaayo ebintu by’abasibe.
Lukwago avumiridde embeera emuyisiddwamu, nti so nga yatwala obuvunanyibwa okutegeza bekikwatako ku ensonga eno.
Lord mayor bw’abadde akyali mu komera e Kitalya asabye Government ya kuno eyimbule abasibe bonna abakwatibwa ku ensonga z’ebyobufuzi, n’abatembeeyi abayolwa mu Kampala bateebwe ewatali kusibwako bukwakulizo bwonna.
Lukwago agambye nti abasibe abasinga mukomero lye Kitalya nti baasibwa ku misango gyabyabufuzi, sso nga semateeka awa buli muntu obuyinza okuwagira ekibiina kyayagala.
Lordmayor abadde awerekeddwako kansala we Lubaga Kizza Hakimu era minister w’ebyenguudo mu KCCA, n’abalala.