Mu bbanga lya myaka etaano egiyise,government yakasaasaanya shilling obuwumbi 677, okusasula ensimbi z’obupangisa ku bizimbe byobwannanyini ebikolerwako ebitongole bya government.
Bino biri mu alipoota eyakoleddwa oludda oluvuganya government mu parliament, eyesigamiziddwa mukwetegereza embalirira y’eggwanga ekyali mu mubage eyomwaka gw’ebyensimbi 2022/2023.
Alipoota eno yateereddwako omukono gw’akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba.
Ebiwandiiko ebinyonyola ensimbi zino obuwumbi 677 ez’obupangisa,yagisimbulizza mu biwandiiko bya ministry yebyensimbi n’okuteekeratekera eggwanga.
Okusinziira ku alipoota eno, ensimbi z’obupangisa government zesasula zizze zirinnya mwaka ku mwaka.
Mu mwaka gw’ebyensimbi 2017/18 yasasula obuwumbi 116.
Mu mwaka 2018/19 yasasula obuwumbi 130.
Mu mwaka 2019/2020 yasasula ensimbi zobupangisa obuwumbi 135.
Songa mu mwaka 2020/2021 yasasula obuwumbi 137.
Kiteeberezebwa nti mu mwaka guno 2021/2022 ogunaatera okugwako ,obuwumbi 167 bwebugenda okusasulwa mu bupangisa.
Mu alipoota eno oludda oluvuganya government lukirambise nti waliwo akakundi kabantu kumpi bebamu nga bebannanyini bizimbe byonna,ebitongole bya government kwebipangisa era bebasasulwa ensimbi ezo.
Bano kuliko Sudir Rupalleria nannyini kizimbe Kya Kingdom Kampala ekisangibwa ewaali essomero lya Shimon okuliraana parliament ne UBC.
Ku kizimbe kya Kingdom Kampala kupangisaako wofiisi z’ababaka ba parliament , ministry y’ensonga za East Africa ,kwekuli wofiisi z’abawabuzi ba president n’ebitongole ebirala.
Okusinziira ku alipoota eno ,ministry ya east Africa esasula akawumbi 1 nobukadde 860 (shs 1.860b)
Wofiisi z’abawabuzi ba president okusangibwa eya Edward Kiwanuka Ssekandi ,John Patrick Amama Mbabazi nabalala government ezipangisa akawumbi 1 n’obukadde 200 (shs 1.200b).
Nga parliament yesinga okusasula sente ennyingi,ng’epangisaako wofiisi z’ababaka.
Gyebuvuddeko government yategeeza nti yali etandise ku nteekateeka ey’okuzimba ekifo e Bwebajja ku luguudo lwe Entebbe ,ebitongole ne ministry za government zonna wezigenda okussibwa.
Kino kyali kigendererwamu okukendeeza ku nsimbi government zesaasanyiza mu bupangisa, wabula Werutuukidde olwaleero enteekateeka zino tezinamanyika wezaakoma.