Bannamawulire mu Uganda bagala ebitongole ne kampuni ezikwatibwako, okwekubamu tooci bigonjoole ensonga ezizze zinokolwayo mu kulinnyirira eddembe lya bannamawulire.
Ebitongole ebiri ku mwanjo mwemuli ebyokwerinda, ne kampuni ezikozesa bannamawulire, omuli okubalirika emiggo, n’okubasiba mu makomera olw’okukola emirimu gyabwe.
Abalala abatunuuliddwa be bakozesa abatwala bannamawulire mu ngeri etasaanidde, ensasula ekyali mbi, obutawebwa bikozesebwa,okukola obudde obungi nebutasasulwa,obutawebwa bbaluwa zibakakasa ku mirimu n’ebirala.
Olunaku luno olubaawo nga 3 May buli mwaka lutuukidde mukaseera nga police era ekyetisse engule yokulinyirira edembe lya banamawulire.
Okusinziira ku alipoota y’ekibiina ekitakabanira eddembe lya banamawulire ekya Human Rights Network for Journalists Uganda (HRNJ), police yazza emisango 82 ku misango 131 egyalopebwa bannamawulire omwaka oguwedde.
Police eddirirwa amajje ga UPDF ne misango 25, ba RDC, SFC, abantu babulijjo n’abalala abenyigira mukulinnyirira eddembe lya bannamawulire.
Ssendegeya Muhammad munnamawulire wa CBS yoomu ku baali balozezza ku bukambwe bqa police, ng’agamba nti oluyi olwamukubya omusirikale wa police ng’asaka amawulire mu bitundu by’e Mengo mu mwaka gwa 2021, kwe kumu kukusoomozebwa kwalifa alojja mu mawulire.
John Cliff Wamala owa NTV agamba nti yafuna obuvune ku mutwe, olw’abakuuma ddembe okumukuba, era alina n’okutya nti obuvune buno bwandimufuukira ekizibu gy’ebujja.
Robert Sempala akulira ekibiina ekitakabanira eddembe lya banamawulire mu gwanga, agambye nti abakuuma ddembe okutulugunya bannamawulire, kabonero kakuziyiza bannansi okumanya ebigenda mu maaso mu ggwanga.
Ssempala ayagala buli eyenyigira mukutulugunya munnamawulire akangavulwe mungeri esaanidde, okusinga okubazibikiriza ng’enkola bweri kati.
Mathius Rukundo president w’ekibiina ekitaba banamawulire bonna mu gwanga, awanjagidde banaddiini okweyambisa obuyinza bwaabwe babalwanirireko mulutalo lw’okulwanirira eddembe ly’amawulire.
Wadde guli gutyo, government esabye ebibiina ebigatta bannamuwulire wano mu ggwanga okufuba okulwanyiisa abantu abefuula bannamawulire abayita ku mikutu gya social media okusasanya amawulire ag’obulimba nebabavumaganya.
Minister omubeezi ow’amawulire n’okulambika eggwanga Godfrey Kabyanga ategezezza nti mu kaseera kano waliwo abantu bangi abeefuula abamawulire abakozesa omutimbagano okusasanya amawulire amakyamu.
Minister Kabyanga era asabye bannamawulire okukozesa obulungi eddembe lyabwe, nga bewaala okukola amawulire agalumya eddembe ly’abantu abalala
Robert Ssempala akulira ekitongole ekirwanirira eddembe ly’abamawulire mu ggwanga ekya Human Rights Network for Journalists (HRNJ) agambye nti olunaku luno lusaana kukuzibwa nga lugonjoola ebyo ebiremeseza amawulire okweyagalira mu mulimu gwabwe, nga government yesookerwako awatali kwekwasa busongasonga.