Radio ya CBS FM ng’eri wamu ne banywanyi baayo abakampuni erunda enkoko eya Capital Chicken okuva e Kamwokya ne Mandera group of companies bawadde abaddu ba Allah okuva mu muzikiti gw’Abagalana e Luweero ettu lya Eid, okubeebaza okuwuliriza, okubeebaza okusiiba n’okubaagaliza Eid ennungi.
Abaddu ba Allah mu muzikiti gwa Abagalana mu district ye Luweero bawereddwa enkoko, omuceere, sooda, engano, Butto n’ebirala bibayambeko okuyita obulungi mu Eid Elftr.
Akuliddemu abasiraamu okuva e Luweero Haj Musa Kakande nga ye ssentebe wa Greater Luweero Muslim district, yebazizza nnyo CBS okuwagiranga enteekateeka zobusiraamu nasaba abaddu ba Allah okwogera okuwuliriza CBS nti kubanga yerina program ezizimba ezituukira ddala ku muntu wabulijjo.
Francis Muhwezi okuva mu Capital Chicken agambye nti nga bayita mu CBS basobodde okutuuka ku bukadde nobukadde bw’abantu, era yeyamye okwongera okulangira ku CBS.
Akulira okutuusa Radio ya Ssaabasajja mu bantu Patriko Mujuuka agambye nti basazeewo okuddiza ku bawuliriza ba CBS FM, okubebaza okuwuliriza nokwebaza abaddu ba Allah okusiiba nabasaba obutava Ku CBS kubanga ebipya bingi ebiyigiriza bikyajja.