Okusaala Idd el-fitri mu Uganda mu mizikiti egy’enjawulo,kusinze kwetoololera ku kusabira emirembe mu ggwanga, n’ebbeeyi y’ebintu eyekanamye.
Abaddu ba Allah bategezezza nti ebbeeyi y’ebintu ebakaluubirizza nnyo nga basiiba omwezi omutukuvu ogwa Ramathan, nga n’abamu balemereddwa okufuna emmere n’ebyokukozesa ebirala ebimala okuliisa obulungi abantu babwe ku Idd.
Wabula Ssaabaminister wa Uganda Robina Nabbanja Musaafiiri eyetabye mu kusaala ku muzikiti gwa Old Kampala asabye abantu okubeera abakekkereza okuyita mu mbeera eriwo, gy’agambye nti yakaseera buseera.
Nabbanja asabye abasiraamu okwongera okusabira emirembe mu nsi yonna, nti kubanga ebbeeyi y’ebintu terinnye mu Uganda wokka wabula nsi yonna.
Asuubizza nti government siyakwongera kulinnyisa misolo omwaka gw’ebyensimbi ogujja.
Ku muzikiti omukulu ogwa Old Kampala, okusaala Swallat Eid Ilfitir emalako ekisiibo ky’omwezi gwa Shawalluh okusinzira ku kalenda y’eddiini y’obusiraamu, kukulembeddwamu Mufti wa Uganda Sheik Shaban Ramathan Mubajje.
Mufti Mubajje ategeezezza nti obusiiramu mu Uganda bwandibadde bwegatta dda nenjawukana eziriwo zandibadde zagwawo dda.
Agambye nti waliwo abakungu mu government ya kuno abasinze okulemesa enteekateeka y’okwegatta kw’abasiraamu okutambula obulungi olw’e bigendererwa byabwe ebitamanyiddwa.
Ambassador wa Libya mu Uganda Ibrahim Sultan Almajhari asaalidde ku Old Kampala n’asaba abayisiraamu okukulembeza emirembe mu byona byebakola.
Mu kusaala okubadde ku Nakivubo blue primary school kukulembeddwamu akulira abatabbuliki mu ggwanga Amir Umar Sheik Kamoga n’agamba nti ng’abasiraamu tebalina buzibu bwonna na government, nti naye waliwo bannabwe ababawaayiriza nebabasibako ebigambo n’ebikolwa byebatamanyi.
Sheik Kamoga yakwatibwa government n’asibwa mu kkomera okumala emyaka 6 ng’avunaanibwa emisango gy’obutujju wabula oluvannyuma gyamujibwako n’ayimbulwa.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru ne Sharif Lukenge
Ebifaananyi: Musa Kirumira