Munnamawulire wa CBS era omukubiriza wa program Londoola ensonga ne program Kalabaalaba, Dr. Sam Kazibwe aweereddwa engule eya munnamawulire asinga okunoonyereza ku mirimu gyakola.
Program ya Londoola ensonga ebeera ku Cbs Fm 88.8 okuva monday okutuuka friday ku ssaawa bbiri okutuuka ku ssatu ez’ekiro (8-9pm).
Kalabaalaba ebeera ku Cbs emmanduso buli Sunday,okuva ku ssaawa nnya okutuuka ku ttaano ez’okumakya (10-11am).
Dr. Sam Kazibwe engule eno emuweereddwa abeekibiina ekigatta bannamawulire mu ggwanga ekya Uganda Journalists Association (UJA), ku mukolo ogubadde ku Hotel Africana bannamawulire nga bajaguza n’okwefumiitiriza ku lunaku lw’eddembe lyabwe.
Dr Sam Kazibwe oluvannyuma lw’okuwangula engule eno, agambye nti kisaanidde bannamawulire okwongera okujjumbira ebyokunoonyereza kwabwe, nookwongera okumanya ku kyebalina okukola nga bali ku mirimu nobuweereza bwabwe eri ensi.
Abalala abaasimiddwa kuliko omukyala omulwanirizi weddembe lya bannamawulire abakyala mukibiina kya Uganda Media Women Association, (UMWA), Margat Ssentamu, era ngono agambye nti enteekateeka UJA gyetandiseeko yakuyambako bannamawulire okuddamu amaanyi nabakyala okwongera okujjumbira omulimu guno.
Ssenfuka David, omukugu mu byokutabula eddagala ly’ekinnansi erijanjaba endwadde nga sukaali ne kansa, naye yoomu ku banna Uganda abasiimiddwa olw’obuyiiya bwagasse ku ggwanga, era ono ategezezza Cbs nti bannamawulire basaanidde okwongera okunonya abantu abalinga ye okubooleka ensi.
Munnamateeka Nalukoola Luyimbaazi, munnamawulire Paul Kakande, president w’ekibiina kya bannamawulire abakulisitaayo Zambaali Blasio Mukasa, Joshua Musaasizi Nsubuga president wa bannamawulire abaadiventi, munnamawulire wa Cbs asaka agebyobulamu Ddungu Davis Joel, kampuni ezenjawulo n’abalala bebamu ku bawereddwa engule ezibasiima olw’obuweereza bwabwe.
Mathias Rukundo president wa bannamawulire mu Uganda agambye nti eno yeemu ku nkola egendereddemu okuzaamu bannamawulire amaanyi wadde nga bakolera mu bugubi, n’okusiima abo abaasouka mu mulimu guno.
Omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu Dr Livingstone Ssewanyana, asinzidde ku mukolo guno naalabula government ku kyokutyoboola eddembe ly’amawulire n’obutakkiriza nsi kumanya byesanidde okumanya, nti bisaanye bikomezebwe.