Abantu 20 bafiiridde mu kabenje akagudde mu bitundu bye Fortportal, bus ya kampuni ya Link UAB 003 S mwebabadde batambulira eremeredde omugoba waayo neegwa.
Akabenje kano kagudde mu katundu akamanyiddwa nga Ssebitooli mu district ye Fortportal.
Omwogezi wa poliisi y’ebidduka Faridah Nampiima agambye nti abafudde kuliko abantu abakulu 13 n’abaana abato 7. Abasajja bali 11 abakazi 9.
Kigambibwa nti omugoba wa Bus eno abadde ku misinde gyayiriyiri nalemererwa okuweta ekkoona lye Ssebitooli ewali amajaani, era kiteberezebwa nti kyekiviriddeko akabenje kano.
Omwogezi wa police e Fortpotal Twesige Vicent agambye nti abantu abamu bafiiriddewo ate abalala bafiiridde mu malwaliro gyebabadde baddusiddwa.
Abantu abalala abakoseddwa ennyo bali mu ddwaliro lye Buhinga, n’emirambo 20 gitwaliddwa mu ddwaliro lye limu.