Eggye ly'e ggwanga erya UPDF liyise abazirwanako 3000 abali wansi w'emyaka 55 abakyalimu ku mbavu, okuddamu okutendekebwa basindikibwe mu ddwaniro e Somalia. Omwogezi wa UPDF Brig. Gen. Felix Kulaigye agambye...
Abakulembeze ba LC 1 e Ganda mu gombolola ya Wakiso Mumyuka bali ku muyiggo gw'omusajja eyasiwuuse empisa n'akkakkana ku mukyalawe ku lunaku lw’abaagalana n'amusibira mu nju n'ebisumuluzo n'agenda nabyo....
Abasirikale ba police y'okunguudo 3 bakwatiddwa mu district ye Bukomansimbi, ku bigambibwa nti babadde bateega abagoba b'ebidduka naddala aba pikipiki nebabakanda ensimbi. Kigambibwa nti abasatu bano babadde bava mu district...
Ssabaminister Robina Nabbanja Musafiiri alagidde akakiiko mu maka g’obwa President akalwanyisa obulyake aka state House Anti-Corruption Unit, kukwata abakulira essomero lya government erya Mahanga Senior Secondary School erisangibwa mu Town...
Minister w’eby’enjigiriza n’eby’emizannyo Janet Kataaha Museveni, asabye abaddukanya Makerere University okwongera amaanyi mu by'okunoonyereza okuzza ekitiibwa kya Makerere mu katale k'ebyenjigiriza mu nsi yonna. Amyuka ssenkulu wa ssetendekero wa London...
Babirye Florence enzalwa ya district ye Lwengo akakasiddwanti yoomunku bantu abakunukkiriza okuweza rmitwalo 30,000 abaafiiridde mu mutenzaggulu eyayise e Turkey ne Syria Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa aba Ministry y'ensonga z'ebweru wa...
Abantu abawerako balumiziddwa bwebabadde bataasa ebintu byabwe mu muliro ogukutte emmaali y'abasuubuzi mu Kakajjo Kiganda Zone mu Kisenyi mu Kampala. Omuliro gutandise ssaawa nga kkumi ng'obudde bukya. Ekitundu ekiyidde kiri...