Abantu abawerako balumiziddwa bwebabadde bataasa ebintu byabwe mu muliro ogukutte emmaali y’abasuubuzi mu Kakajjo Kiganda Zone mu Kisenyi mu Kampala.
Omuliro gutandise ssaawa nga kkumi ng’obudde bukya.
Ekitundu ekiyidde kiri kumpi n’ekkanisa y’Omusumba David Kiganda, era nga waliwo n’ebiwulirwa nti wandiba nga waliwo omuntu afiiriddemu, wadde nga tanategeerekeka.
Abakolera mu kitundu ekyo, bagamba nti wandiba nga waliwo abantu ab’ettima ababookerera n’ekigendererwa eky’okubagoba mu kitundu ekyo.
Balumiriza nti waliwo abantu abazze balawuna ekitundu ekyo buli kiro, wabula tebabategeera, balaba tooci ezaaka ennyo, nga zigenda zibamulisa.
Ekitundu kino kizze kikwata omuliro enfunda eziwera, wabula ekivaako omuliro tekinamanyika.#