Police ye Bugiri etandise okunoonyereza ku kiviiriddeko akabenje akafiiriddemu abantu basatu e Bugiri.
Loory Tata namba UBK902 J yetomedde ababadde batambulira ku ppiki eya Boda nambaUFB821M.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Busoga East SP Nandaula Diana agambye nti abafudde kuliko Nabwire Jaque 25, Tiiga Aggrey 24, ne Macho Robert 21 nga bonna ba ku kyalo Buluguyi mu Bugiri.
Ate owokuna Jenifer Yobanaye akoseddwa byansusso naddusibwa mu ddwaliro e Bugiri gyali mu mbeera mbi.
Bisakiddwa: Kirabira Fred