Ssabaminister Robina Nabbanja Musafiiri alagidde akakiiko mu maka g’obwa President akalwanyisa obulyake aka state House Anti-Corruption Unit, kukwata abakulira essomero lya government erya Mahanga Senior Secondary School erisangibwa mu Town Council ya Nagongera mu district ye Tororo.
Kigambibwa nti Computer 40 ezaweebwa essomero lino omwaka oguwedde 2022 zonna zabbibwa nga zaatundibwa abakulu ku ssomero lino.
Omwaka oguwedde ekitongole ekirungamya eby’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission kyatongoza enkola eyókuduukirira amasomero ga government gonna mu ggwanga nga kigawa computer,okuyambako abayizi okuyiga computer mu myaka emito.
Essomero Mahanga sss lyerimu kwago agasooka okufuna computer 40 mu nteekateeka eno.
Wabula mu bikwekweto ebyakoleddwa Omubaka wa government ku malwaliro námasomero e Tororo Amula Albert kyazuuliddwa nga Computer zonna zabbibwa.
Ssenkulu we kitongole kya UCC Irene Kaggwa Ssewankambo alaajanidde office ya kaliisoliso wa government okuzuula ekituufu ku ku computer zino gyezalaga, nti kubanga enteekateeka eno egenderedwamu okuyaba abaana mu masoso agómubaalyo.
Ssabaminister Robina Nabbanja Musaafiiri alagidde akakiiko ka Anti-Corruption Unit mu Maka góbwa President akakulemberwa Brig Gen Henry Isoke mu bwangu okuyambako RDC okukwata abantu bano bagambye nti bavumaganya government.
Bisakiddwa: Ssebuliba William