Minister w’eby’enjigiriza n’eby’emizannyo Janet Kataaha Museveni, asabye abaddukanya Makerere University okwongera amaanyi mu by’okunoonyereza okuzza ekitiibwa kya Makerere mu katale k’ebyenjigiriza mu nsi yonna.
Amyuka ssenkulu wa ssetendekero wa London University Prof Thomson Wendy, nga y’abadde omwogezi owenjawulo ku matikkira ga Makerere Univeristy ag’omulundi 73.
Amyuka ssenkulu wa Makerere Universit, Prof Barnabus Nawangwe, mu ngeri yeemu agambye nti baakutikkira abayizi 102 ku mutendera gwa degree eyokusatu doctorate, nabalala 1,378 bebagenda okwewangulira degree eyokubiri.
Omugatte abayizi 13,209 bebagenda okutikkirwa mu nnaku 5 kuliko abalala 108 bakola post graduate ate 11,586 bebafuna degree yaabwe esooka.
Ku mattikira gano Prof Christopher Warren, omukugu mu byokunonyereza eyayayambako Uganda okukola ekifo awakeberebwa Ebola ne Covid 19, aweereddwa ekitiibwa n’ekirabo ky’ekkula ly’obwa Doctor olwokukwasizaako Uganda mu kulwanyisa endwadde.
Mu batikkiddwa degree ey’okusatu kuliko Dr. Ekwaro Obuku, eyali president waabasawo, mu kibiina ekya Uganda Medical Association, (UMA), Owek. Rashid Lukwago omubaka mu lukiiko lwa Buganda era ssaabagunjuzi w’ekisaakaate.
Mungeri yeemu ssabalamuzi wa Uganda, Chief Justice Owinyi Dollo, naye atikkizza muwalawe mu bukugu bwebyamateeka.
Bisakiddwa: Ddungu Davis