Ebyentambula bisanyaladde okwetoloola Mengo, omusirkale wa traffic bw’abadde agoba owa bodaboda okumukwata, omusaabaze nagwa wansi mmotoka neemulinya nafiirawo.
Akabenje kano kagudde ku luguudo Balintuma e Mengo, mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.
Afudde nataddegereka bimukwatako.
Ate ye omusirikale abadde akwata owa bodaboda addusiddwawo basirikale banne okumuwonya aba boda boda ababadde bagala okumugajjambula.
Wabula akulira police ya old Kampala OC Akolagye yetondedde aba boda boda ku bibaddewo, n’abasubiza okugamba ku basirikale babwe abokunguddo okukyusa mu ngeri gyebakolamu emirimu.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru