Eggye ly’e ggwanga erya UPDF liyise abazirwanako 3000 abali wansi w’emyaka 55 abakyalimu ku mbavu, okuddamu okutendekebwa basindikibwe mu ddwaniro e Somalia.
Omwogezi wa UPDF Brig. Gen. Felix Kulaigye agambye nti abazirwanako okubatumya okuddamu okutendekebwa, kivudde ku bwetavu bwa bajaasi obwalabiseewo mu ddwaniro e Somalia, ate nga betagibwa mu bwangu ddala.
Kulayigye agamba nti abazirwanako abetagibwa bateekeddwa okuba nga balamu bulungi era nga bakyalina embavu, nga balina endagamuntu, nga bali wansi w’emyaka 55, era nga balina ebbaluwa eraga okuwumuzibwa kwabwe mu Magye.
Okusunsula abazirwanako bano kutandise era kwakumala ennaku 4, kukomekkerezebwa nga 18th February,2023.
Bisakiddwa: Musisi John