Babirye Florence enzalwa ya district ye Lwengo akakasiddwanti yoomunku bantu abakunukkiriza okuweza rmitwalo 30,000 abaafiiridde mu mutenzaggulu eyayise e Turkey ne Syria
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa aba Ministry y’ensonga z’ebweru wa Uganda kiraze nti Omugenzi Babirye Florence wamyaka 31, ava mu district ye Lwengo yasangiddwa mu bitindu bye Hatay ebimu ku bitundu ebyakosebwa ennyo mutenzaggulu.
Ekiwandiiko kiraze nti Waliwo MunaUganda omu akyafuna obujanjabi mu ddwaliro Lya Malataya era agenda assuuka olw’obuvune bweyafuna
Mu mbeera yemu ekitebe kya Uganda e Turkey kikyagenda mu maaso n’okunoonya banaUganda bonna abaakosebwa enjega eno, nga waliwo abalala 16 abaasangiddwa mu Province ye Malataya nabo nga baakosebwa.
Ekiwandiiko era kiraze nti entekateeka zikolebwa okuzza kuno omubiri gwa Babirye Florence guziikibwe okwaboobwe.#