Police ezzeemu okulabula amasomero okwewala okutambuliza abayizi b'amasomero ku loole, okukendeeza ku bubenje obubatuusibwako. Okulabula kuno wekujidde ng'abayizi abasoba mu 100 ab'essomero lya Nakhupa Primary School mu district ye Manafwa...
Omuliro ogutanategerekeka kweguvudde gukutte negusaanyaawo ekisulo ky'abalenzi ku ssomero kya Green Hill Junior School mukibaati mukibuga Mityana. Tewali muyizi akoseddwa babadde mu bibiina nga basoma. Abadduukirize bagamba nti omuliro gutandikidde...
Minister omubeezi ow'ensimbi n'okuteekerateekera eggwanga Emos Lugoloobi asomeddwa emisango gy'okwezibika amabaati ga government 700 agaali ag'okuwebwa abakalamoja, emisango egyegaanye. Omulamuzi wa kooti enkulu Margaret Tibulya alonze abantu ba bulijjo 3...
Emirambo 14 gyegyakazuulwa abalunnyanja ne police ya balubbira, eri ku mulimu ge'okunoonya abantu abaagwa mu annyanja Nalubaale nga 05 August 2023. Ekinaala kwebaali basaabalira kyali kiva ku mwalo gwe Ntuuwa...
Omwana omuwala ow’emyezi 3 asikiridde mu nabbambula w'omuliro akutte ennyumba mwabadde yebasiddwa. Enjega eno egudde ku kyalo Ddongwa mu muluka gwe Nakaseeta mu gombolola ye Kisekka mu district ye Lwengo...