Omwana omuwala ow’emyezi 3 asikiridde mu nabbambula w’omuliro akutte ennyumba mwabadde yebasiddwa.
Enjega eno egudde ku kyalo Ddongwa mu muluka gwe Nakaseeta mu gombolola ye Kisekka mu district ye Lwengo mu maka g’omugenzi Ssessiriya, ng’omwana afudde abadde wa muzukkulu amanyiddwako erya Peter era y’abadde agabeeramu.
Maama w’omwana Musomesa w’eddiini abadde agenze mu lukungaana olubadde mu kisomesa ky’eklezia ekye Bunyere.
Omu ku bakulembeze b’ekitundu Peter Mawejje agambye nti tebanamanya kituufu kivudde muliro guno okukwata emisana ttuku, nti kubanga abaana 5 ababaddewo awaka byeboogera tebikwatagana.
Omwana omu agamba nti omuliro balabye guva ku battery y’amasannyalaze ga Solar, ate omulala agamba nti babadde n’ekibiriiti kyebazannyisa, olwo munabwe omu kwemukasuka akabiriiti mu nnyumba nekwata omuliro.
Abaana badduse okugenda okuyita ab’omuliraano bataase omwana ow’emyezi 3 abadde yebase, basanze ennyumba efuuse muyonga nga tebakyalina kyebataasa.
Mu ngeri yeemu abaana 2 basimatuse okufiira mu nabbambula w’omuliro akutte nasaanyaawo ennyumba ya kitabwe Tebandeke Christopher, omutuuze ku kyalo Nkumba Central mu Town Council ye Katabi e Ntebe emisana ttuku.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito