Abalamuzi ba kooti 13 bawummudde emirimu gy'obulamuzi, oluvanyuma lw'okuweza emyaka 65 ne 70 egy'obukulu. Abalamuzi ba kooti enkulu bawummulira ku myaka 65 egy'obukulu, ate aba kooti ensukkulumu bawummulira ku 70....
Ekitongole ekivunanyizibwa ku kulwanyisa ssente ezikukusibwa okuyingizibwa mu Uganda ekya Financial Intelligence Authority, kyanjudde report y`omwaka 2021-2022, eraze nti ssente ezikukusibwa okuyingizibwa mu ggwanga zeyongedde okukendeera. Mu mwaka gwa 2020-2021,...
Abatemu ab'ebijambiya balumbye ebyalo okuli Ntebettebe ekisangibwa mu division ye Bweyogerere awamu ne Mbalwa batemyetemye abantu 2 okuli Josephine Mirembe ne Sharon Mugala 18 omukozi ku Leisure park esangibwa...
President Yoweri Museveni akyusizza mu kiragiro kye ekyali kigaana ebitongole bya government okulangira ku mikutu gya mawulire egyo bwannanyini, ng'ayagala ebirango byonna bitekebwe ku mikutu gya government gyokka. Omuteesiteesi wa...
Omuserikale wa police Gilbert Arinaitwe Bwana asindikiddwa mu kkomera e Luzira, avunaanibwa emisango omuli okukabassanya omukoziwe n’okukukusa abantu nga bino bibaddewo mu mwaka guno 2023. Omulamuzi omukulu owa kooti ya...
Ekitongole ekirondoola obwenkanya n'obwerufu mu nsima y’eby’obugagga ebyo muttaka ekya Uganda Extractives Industry Transparency Initiative kiragidde government okutandika okuteeka mu lujjudde endagaano zonna ezikolebwa ne kampuni ezisima eby’obugagga ebyo mu...
Police e Luweero eri ku muyiggo gw’abapakasi abagambibwa okuba nti batemudde mukama wabwe eyaluddewo okubasasula omusaala. Police egamba nti ettemu lino libaddewo ku ssaawa nga ttano n’ekitundu ezokumakya ga 09...
Police ekutte abafumbo okuli Fred Mpindi 49 ne mukyala we Harriet Nakiwu 47, abagambibwa okuba nti babadde n'akawanga komuntu mu maka gaabwe, nga bakafugise okumpi n'effumbiro . Abakwatiddwa batuuze ku...