Emirambo 14 gyegyakazuulwa abalunnyanja ne police ya balubbira, eri ku mulimu ge’okunoonya abantu abaagwa mu annyanja Nalubaale nga 05 August 2023.
Ekinaala kwebaali basaabalira kyali kiva ku mwalo gwe Ntuuwa nga kigenda Kasenyi e Ntebbe.
Kyaliko abantu 34 n’emigugu.
Abantu 9 baanunulwa.
Nga 05/Aug/2023 emirambo 8 gyegyalabika
1. Nankya Winnie emyaka 29.
2. Rugose Zam Mutesi Angel emyaka 35.
3. Nabisele Galdyce emyaka 40.
4. Namulondo Proscovia emyaka 44.
5. Najuma Edith emyaka 30.
6. Nsabimana Innocent emyaka 35.
7. Wabwire Dickson emyaka 30
8. Waliwo atannategeerekeka linnya.
Nga 06/August/23, bano bebannyululwa
9. Okumu Derek emyaka 23.
10. Karegyeya Francis emyaka 28.
Nga 07/AUGUST/2023 bano bebannyululwa;
11. Mukutuwa Nicholas emyaka 26.
12. Taremwa Emmanuel alias Ronald emyaka 22.
13. Ssimbwa Moses Kayongo alias Tonny myaka 27
14. Nakato Grace emyaka 18.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti omuyiggo gwokuzuula emirambo emirala gukyayinda.#