Minister omubeezi ow’ensimbi n’okuteekerateekera eggwanga Emos Lugoloobi asomeddwa emisango gy’okwezibika amabaati ga government 700 agaali ag’okuwebwa abakalamoja, emisango egyegaanye.
Omulamuzi wa kooti enkulu Margaret Tibulya alonze abantu ba bulijjo 3 (court assessors) abagenda okuyambako kooti okuwa ensala mu musango oguvunaanibwa minister.
Abalondeddwa era nebakuba ebirayiro kuliko Judith Muhairwe, Fred Ssemukwano ne John Martin Ofwono.
Abasatu bano bakubye ebirayiro ebibakkiriza okuyambako kooti okuwa ensala, nga basinziira ku bujulizi obunaaba buleeteddwa oludda oluwaabi.
Omusango guddamu okuwulirwa nga 22 August,2023.
Minister Amos Lugoloobi avunaanibwa ne minister w’e Kalamoja Mary Gorret Kitutu ne minister we omubeezi Agnes Nandutu.
Bisakiddwa: Betty Zziwa