Balubbira ba Police kyadaaki bazudde emmundu 2 ezaali zaabulira mu nnyanja Nnalubaale, eryato kwebaali basaabalira nga banoonya emirambo bweryakubwa ejjeengo neribayiwamu okwali n’omulambo gwebaali baakazuula.
Eryato lyaliko abantu 4 bonna baasimattuka.
Baali ku mulimu gw’okunoonya amirambo egisoba mu 20, oluvannyuma lw’akabenje akaatuuka ku kinaala ekyali kisaabaza abantu okuva e Ntuuwa okudda e Kasenyi.
Emmundu zombi kika kya Ak 47
Omu ku bakuliddemu ekikwekweto kino Bamunoba Dobaldo agambye nti emmundu zombi kika kya AK 47 nga zombi zizuuliddwa wansi mu nnyanja, so nga n’omulambo ogwali ogwali guguddeyo nagwo gwazuulwa.
Mu kiseera kino emirambo 3 gyegikyabulidde mu mazzi.
Bisakiddwa: Kakooza Georgewilliam