Omusumba w’essaza lya klezia Kasana – Luweero Lawrence Mukasa atuuziddwa ku ntebe y’Obusumba, okukulembera essaza lino.
Omusumba Lawrence Mukasa atuuziddwa Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere,assiddwaako emikono ng’akabonero k’ikugabana obuyinza.
Ssabasumba Ssemogerere era asiize Omuzigo gwa Crisma ku mutwe gw’Omusumba Mukasa, akabinero akooleka nti Omusumba ono alondeddwa era naayawulwa.
Omwepisikoopi Lawrence Mukasa akwasiddwa Vanjiri, naalagirwa okubunyisa enjiri ya Kristu mu Ssaza lino lyonna n’ensi yonna.
Omusumba assiddwaako empeta nga akabonero akalaga nti agattiddwa ne Eklezia, atikkiddwa enkofiira nga ekitiibwa ky’Obutuukirivu, era n’akwasibwa Omuggo gw’Obusumba.
Omusumba Lawrence Mukasa ye bishop we Kasana Luweero owokusatu, azze mu bigere bya Paul Ssemogere eyali okubiri nalondebwa okufuuka Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, ate omugenzi Dr.Cyprian Kizito Lwanga yayasooka okulikulembera n’agibwayo ng’alondeddwa okufuuka Ssaabasumba naye owa Kampala.
Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere asabye Bannakasana Luweero okubeera abawulize eri Omusumba Lawrence Mukasa,mungeri eyenjawulo naamusaba agumire byonna ebisomooza essaza, era akole nnyo n’okusaba Omukama abimalewo.
Ekitambiro kya mmisa kino ekibadde ku kitebe ky’essaza Lya Kasana Luweero kikulembeddwamu Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemoogerere, era kyetabiddwako abakungu okuva mu Bwakabaka ne government eyawakati.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’amuweereza obubaka, bwetikkiddwa Nnalinnya Agnes Nabaloga.
Obwakabaka bukulembeddwamu Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek Prof Dr Haji Twaha Kawaase Kigongo,Nalinnya Agnes Nabaloga, Katikkiro eyawummula Owek Eng JB Walusimbi ,minister wa government ezebitundu Owek Joseph Kawuki, minister w’Amawulire era omwogezi w’Obwakabaka eyawummula Owek Denis Walusimbi Ssengendo, abaami b’Amasaza,n’abakungu mu bitongole by’Obwakabaka.
Mu government ya wakati Omumyuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Rt Maj Jessica Alupo yakiikiridde omukulembeze w’Eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni, minister omubeezi owebyenjigiriza ebyawaggulu Owek JC Muyingo,ababaka ba parliament nabantu abalala bangi.
Government eyawakati etonedde omusumba omuggya emmotoka kapyata, yetikkiddwa omumyuka wa president Rtd Major Jesca Alupo.
Bisakiddwa: Kato Denis
EBYAFAAYO
Bishop Lawrence Mukasa muzzukulu wa Kasujja yeddira Ngeye.
Yazaalibwa nga 14.03.1957 e Nabwiri mu Busujju. Bakadde be be bagenzi Steven Lutwama eyali omusomesa omutendeke so nga ate nnyina ye Elizabeth Namusoke eyali omusawo.
Yakamala mu buweereza bwa klezia emyaka 39.
Abadde Vicar general wa Kiyinda Mityana okumala emyaka 18
Azze mu Kasana Luweero nga ye musumba owookusatu okukulembera essaza lino.
Bishop Lawrence Mukasa agamba nti lumu kitaawe yali ajja Kampala mu 1969 okwaniriza Paapa Paulo VI eyajja naye e Kampala, era nti a ppaapa yamuwa omukisa osanga kino kye kyafuuka emmanduso kweyajja okusoma obusaaseredooti.
Okusoma kwe :
-1964 okutuuka mu 1969 yasomera e Kakindu P/S
-1970 Okutuuka mu 1972 yeegatta ku Nswanjere Preperatory School
-1972 -1976 yeegatta ku Kisubi Seminary
-1977 -1979 Major Seminary Katigondo
-1980 pastoral work yamukolera mu kigo kye Kijaguzo Bulemeezi.
-1981 – 1984 Ggaba National Major Seminary
-Nga 14.08.1983 yayawulibwa nga Omudeacon
-24. June 1984 yaweebwa obusaaseredooti, ( Cardinal Emmanuel Wamala ye yamuwa omusaaseredooti)
-July – Dec 1984 yali mu kigo kye Bukalagi ekya Kiyinda Mityana.
-Jan 1985 – 1986 yali mu kigo kye Nnaluggi nakyo kiri mu Kiyinda Mityana.
-July 1986 – 19 89 Katigondo ng’omusomesa wa history of the church
– 1989 Augst – 1992 yagenda e Rome okusoma mu Gregorian University
– Sept 1992 – 1997 yali Katigondo general spirit director, eyo gyeyava n’addayo mu Kiyinda Mityana gy’aweererezza mu bifo ebyenjawulo okutuuka mu 2023.
Omutukuvu Paapa yamulonda nga 29.04.2023 okufuuka omusumba we Kasana Luweero.
Essaza lya Kasana Luweero (Our Lady of Fatima Queen of Peace/ Maria ow’e FATIMA Kabaka w’e Mirembe)
Ekifo kino awali ekitebe ekikulu eky’essaza kyali Kisomesa, kyokka bwe waalangirirwa okufuuka ekitebe ky’essaza ku nkomerero ya 1996, tekyayita mu mutendera gw’okufuuka ekigo kyafuukirawo kitebe era newazimbibwawo Lutikko.
Father eyasooka okuba bwana mukulu ku kitebe ye Fr. Augustine Mpagi.
Lyatongozebwa nga 1.03.1997 nga lyakutulwa ku Kampala diocese, era ku lunaku luno lwebaatuuza omusumba w’e ssaza lino eyasooka omugenzi Dr. Cyprian Kizito Lwanga.
Omusumba Kizito bwe yavaayo lyakuumibwa Msgr Mathius Kanyerezi.
Bishop Ssemwogerere ye yaddako era bwe yaggibwaayo lyakuumibwa Msgr. Francis Xavier Mpanga.
Lyasooka kukulemberwa omugenzi Archbishop Kizito Lwanga , ne kuddako omusumba Ssemwogerere nga kati ye Ssaabasumba wa Kampala.
Lirimu districts ssatu okuli, Luweero, Nakaseke n’e Nakasongola.
Lirimu ebigo 21.
Okuli
1. Kasana Cathedral Parish
2. Kasaala
3. Kakooge
4. Nakasongola
5. Mijeera
6. Ngoma
7. Kapeeka
8. Kiwoko
9. Nakaseke
10. Kijaguzo
11. Kannyanda
12. Nandere kyatandika 1894
13. Kalule
14. Namaliga
15. Katikamu
16. Nnattyoole
17. Zirobwe
18. Mulajje
19. Kikyusa
20. Kamira
21. Katuugo