Omuliro ogutanategerekeka kweguvudde gukutte negusaanyaawo ekisulo ky’abalenzi ku ssomero kya Green Hill Junior School mukibaati mukibuga Mityana.
Tewali muyizi akoseddwa babadde mu bibiina nga basoma.
Abadduukirize bagamba nti omuliro gutandikidde mu ngalama y’ekizimbe, nebateebereza nti gwandiba guvudde ku masannyalaze.
Nannyini ssomero Kasumba Henry yasobeddwa dda era talina kyeyanyeze.#