Police ezzeemu okulabula amasomero okwewala okutambuliza abayizi b’amasomero ku loole, okukendeeza ku bubenje obubatuusibwako.
Okulabula kuno wekujidde ng’abayizi abasoba mu 100 ab’essomero lya Nakhupa Primary School mu district ye Manafwa bali mu malwaliro bapooca, omu yafiiriddewo oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje mu kabuga ke Kafu mu district ye Manafwa bwebaabadde bava ku mpaka z’amasomero.
Omwogezi wa Police etwala ebitundu ebya Elgon Taitika Rogers agambye nti abayizi baabadde batikkiddwa ku loole Fuso No UBJ 994J ate ng’omugoba waayo avuga ndiima.
Omugoba olwatuuse ku nkulungo n’emulemerera okuweta abayizi abamu nebawandagala, n’oluvannyuma negwa ku ttaka, omuyizi omu yafiiriddewo abalala abasoba mu 100 baddusiddwa mu malwariro.
Taitika alabidde amasomero agakyatambuliza abayizi ku loole bakikomye.#