Eggye ly’eggwanga erya UPDF ne linalyo mu Congo lisse abayeekera bakabinja ka ADF 2 ssaako n’Okununula abantu 7 ababadde bawambiddwa.
Abayeekera bano battiddwa mu kikwekweto UPDF kyekoze era waliwo n’abayeekera 2 aba ADF beewaddeyo eri UPDF.

Okulwanagana Kuno kubadde mu katundu akamanyiddwa nga Kasindi akasangibwa mu bukiika kkono bwa Kivu munda mu Congo.
Omwogezi w’ebikwekweeto bya UPDF mu Congo Maj Yusuf Katamba Biral, agambye nti abantu abanunuddwa omubadde abakyala n’abaana abato batwaaliddwa mu bifo awabudaabudibwa, n’oluvannyuma bakuwebwayo eri ab’enganda zabwe.
UPDF gyebuvuddeko ebadde yakakola ekikwekweto mu kiwonvu ekimanyiddwa nga Mwalika, gyebaanunulidde emmundu , amasasi 15 ne Radio z’Ekinnamagye ezikozesebwa mu by’epuliziganya.#