Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakulira ebitongole byonna eby'obwakabaka okusitula empeereza y'emirimu n'okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri Obwakabaka. Bino Katikkiro abibagambidde mu nsisinkano eyenjawulo ebadde mu Bulange e Mengo,...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye Kabaka Foundation mu Sweden olw'enteekateka ezikoleddwa ezigenderera okukyusa obulamu bw'abantu be. Obubaka bw'omutanda bwetikkiddwa Nnaalinnya lubuga Agnes Nabaloga. Omutanda asiimye olukiiko olwawummudde olubadde...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akuutidde abavubuka okugoberera ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka okukomya n'okwewala okulowooleza mu kugenda emitala wa mayanja, naddala mu mawanga ga Buwalabu nga basuubira okukyusizayo obulamu...
Amasiro g'e Kasubi galangiriddwa nti gagiddwa ku lukalala lw'ebifo by'obuwangwa ebiri mu katyabaga, negazzibwa ku lukalala lw'ebifo eby'obuwangwa ebyenyumirizibwamu era ebisobola okulambulwa abalambuzi abava mu Uganda ne mu mawanga amalala....
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza abakungu okuva mu Japan bwebegasse ku bwakabaka bwa Buganda okusaba ekitongole kya UNESCO okuggya amasiro ge Kasubi ku lukalala lwebifo ebiri mu katyabaga kokusanyizibwawo....
Abaweereza mu bitongole by’Obwakabaka baweereddwa amagezi okwenyigira mu buli ntekateeka y’Obwakabaka, okugoberera ennambika n’enkola y’emirimu , olwo baweereze Obwakabaka bulungi era mu bwesimbu. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga...
Government ya Uganda ng'eri wamu nÉkitongole kyámawanga amagatte ekyÓbuwangwa nébyenjigiriza ki UNESCO byeyamye okukwasizaako Obwakabaka bwa Buganda okuwa obukuumi obumala ku masiro g'e Kasubi, ng'ekifo ky'eby'obulambuzi eky'ensi yonna. Amasiro ge...
Akakiiko akaaweebwa omulimu gw’okwetegereza n’okwekenneenya enkola y’emirimu mu masaza ga Buganda gonna e 18, kawaddeyo alipoota omuli byebaazudde eri minister wa government ez’ebitundu mu Bwakabaka Owek Joseph Kawuki. Omukolo gw’okuwaayo...