Ebittavvu bya Radio ya Kabaka CBS FM, okuli Buddu CBS PEWOSA SACCO ne Kyaddondo CBS PEWOSA SACCO byegasse ku Bwakabaka bwa Buganda nebigula emigabo mu kkampuni y’ebyempuliziganya eya Airtel.
Buddu CBS PEWOSA SACCO eguze emigabo gya nsimbi akawumbi kalamba, ate Kyaddondo CBS PEWOSA SACCO n’egula emigabo gya bukadde kkumi.
Okutwalira awamu Buganda n’ebitongole byayo baakagula emigabo gya nsimbi akawumbi kamu n’obukadde bibiri mu kkumi.
Obwakabaka bwebwasooka nebugula emigabo gya bukadde bwa nsimbi 200m.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye n’ebitongole bya Buganda n’abantu ba Kabaka abalala okwettanira okusiga ensimbi mu bitongole nga Airtel nti kubanga yeesigika, ate bwebasiga nabo bafuna obwannannyini mu kkampuni eyo nebafunamu n’amagoba.
Abakulira ebitavvu okuli Owek. Bbaale Mugera owa Buddu CBS PEWOSA ne Omuk. Michael Kawooya Mwebe owa Kyaddondo CBS PEWOSA, bagambye nti baakirabye nga kyamakulu okusiga ensimbi mu Airtel kyongere okuggumiza ebyenfuna bya bammemba n’ebibiina byabwe.
Ssenkulu wa Airtel Uganda Manoj ‘Mayanja’ Murali yeebazizza aba CBS PEWOSA olw’okusalawo obulungi nebagula emigabo mu kkampuni yaabwe n’asuubiza okukuuma obwasseruganda n’obwesige.
Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mengo nga gwetabyeko ba minister bonna aba Buganda, ba ssunkulu b’ebitongole bya Buganda ab’enjawulo n’abalala bangi okuva mu Airtel Uganda.
Enteekateeka y’okugula emigabo mu kkampuni ya Airtel mu nkola emanyiddwa nga IPO ekomekkerezebwa nga 13 October,2023 wabula oluvannyuma lw’akaseera emigabo egyo gisuubirwa okuzzibwa ku katale olwo gitandike okusuubulwa.
Enkola ey’okugula emigabo etandise okwettanirwa mu Uganda, olwénteekateeka ekoleddwa okwongera okusomesa abantu.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K