Obwakabaka bwa Buganda busse omukago n’ekitongole kya government eyawakati ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’eddagala mu ggwanga ekya Uganda National Drug Authority, gugendereddwamu okutumbula enkozesa y’eddagala entuufu naddala ery’obutonde mu bantu ba Buganda ne Uganda yonna okutwalira awamu.
Minister w’enkulaakulana y’abantu mu Buganda omugwa eby’obulamu, Owek. Cotilda Nakate Kikome y’atadde omukono ku ndagaano eno, ate ku lwa National Drug Authority Dr. David Nahamya Ssaabawandiisi w’ekitongole ekyo n’ateekako omukono, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yeeyamye ku lwa Buganda nti baakukolagana n’ab’ekitongole okukakasa ng’abantu bafuna eddagala ettuufu.
Katikkiro yennyamidde olwa bannauganda naddala abayivu abebalama okugenda mu malwaliro nebafuula essimu zaabwe sseereza abasawo olwo nebegulira eddagala nga tebalungamiziddwa basawo bakugu.
Katikkiro agambye nti abantu abamu bakozesa nnyo emitimbagano okumanya ku bikwata ku ndwadde n’eddagala lyazo, nebamala galikozesa ekireetedde bangi okufuna obuvune obw’amaanyi obuva ku nkozesa yalyo enkyamu.
Mu mbeera yeemu Katikkiro asuubizza aba NDA nti Buganda yakuyamba mu nteekateeka y’okubangula abasawo ab’ekinnansi ku nkozesa entuufu ey’eddagala ery’obutonde, bakomye okulisaako obwebindu.
Awabudde ku nsonga y’okukuuma obutonde bwensi n’agamba nti Buganda yabanzeewo enteekateeka y’okusomesa abantu ba Kabaka okwettanira okusimba emiti ng’emu ku nkola y’okutaasa n’okukuuma eddagala lyaffe ery’obutonde.
“Tulina enteekateeka ey’okusimba emiti, buli mukolo ogw’okwanjula n’okwabya olumbe tusimba emiti, kati tulina n’enkola gyetwatongozza ey’ekibira kya Kabaka nga buli ssaza liteekeddwa okubeera n’ekibira kya Kabaka”.
Ssentebe wa bboodi ya National Drug Authority Dr. Medard Biteekyerezo ku lw’ekitongole yeeyanzizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okusiima n’awoma omutwe mu nteekateeka y’okukunga abantu ku nkozesa y’eddagala entuufu.
Bitekyerezo agambye nti mu nteekateeka zabwe zonna, tebalina ngeri gyebayinza kwewala kukolagana na Bwakabaka, nti kubanga bulina abantu bangi n’eddoboozi ly’abakulembeze babwo lissibwamu ekitiibwa.
Dr. Bitekyerezo ategeezezza nti ekitongole kyabwe kikyalina okusoomoozebwa naddala mu bavubuka abakozesa ebiragalalagala, abatembeeya eddagala, abasawo n’abatabuzi b’eddagala ly’obutonde abafere ne bannansi abasusse okwejjanjaba.
Agambye nti abatabuzi b‘eddala ly’obutonde beetaaga okulungamya nti kubanga bannansi ebitundu 70% basooka kukozesa ddagala lya buttonde nga tebannagenda mu malwaliro.
“Njagala nkutegeeze nti abantu eddagala ly’ekinnansi balikozesa, tetusobola kudda wano kwogera luzungu netwerabira eddagala lyaffe ery’obutonde, Nze nkubuulira, Emmumbwa abantu bazirya, ekitegeeza nti tetuyinza kuva ku butuufu obwo”.
Omukolo guno gwetabyeko ba minister ba Buganda okuli Owek. Mariam Nkalubo Mayanja, Owek. Israel Kazibwe ne Owek Hajji Hamis Kakomo n’abalala okuva mu NDA.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K