Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde amagezi eri abantu ba Kabaka mu Ssaza Kyaddondo okukozesa omukisa gw’Obutale obubali okumpi bekulaakulanyize mu bulimi n’Obulunzi.
Katikkiro abadde ayogerako gyebali ku kisaawe ky’essomero lya Lwadda Church of Uganda primary school Matugga mu Kyadondo.
Mu kusooka Katikkiro atongozza ekibiina ky’Obwegassi ki Wabitembe Developers and Co-operative savings and credit society limited e Buwambo.
Alambudde abamu ku balimi b’emmwanyi abagundiivu okubadde Ddungu Charles owe Ssaayi, ne Kazibwe Joachim owe Mwerere.
Katikkiro akaatirizza obukulu bw’Essaza lino eri Obwakabaka, naasaba abaliwangaaliramu okubeera abayiiya ennyo.
Mungeri yeemu Katikkiro asabye abavubuka okukozesa amaanyi nga bakyagalina, bakaddiwe nga balina emirembe.
Minister w’eby’Obulimi, Obulunzi, Obuvubi n’obwegassi Owek Haji Amis Kakomo agambye nti eby’Obulimi mu Bwakabaka bigenda kusitukira ddala, olw’ebirungi ebirabwako ebitukiddwako, era nti abantu bangi bongedde okwettanira obulimi n’obulunzi.
Omwami w’essaza Kyadondo Haji Matovu Magandaazi asabye abantu ba Kabaka obutayabulira kulima nti kubanga mulimu oguvaamu ensimbi ezigaggawaliza ddala.
Ssentebe wa boodi y’Ekitongole kya Beene eky’Ebyobulimi ki BUCADEF Omuk Dr.Benon Ssekamatte, asabye abantu ba Kabaka okwettanira emisomo egiyamba mu kuzza obulamu mu ttaka, lusobole okuvaamu ebibala ebyegasa.
Omubaka wa parliament akiikirira Nansana municipality Wakayima Musoke Nsereko ,yeeyamye okukwasizaako abantu ba Kabaka mu Ssaza Kyadondo era neyeebaza Obwakabaka olwokukubiriza abantu baabwo okuva mu bwavu.
Bisakiddwa: Kato Denis