Obwakabaka bwa Buganda buzizza buggya omukago gwayo ne Centenary Bank, okumala emyaka emirala 3, nga gugenda kuyitibwamu okuvujjirira empaka z’emipiira gy’amasaza ga Buganda okuva mu mwaka 2023-2025.
Mu nkolagana eno Centenary Bank yaakuteeka obukadde bw’ensimbi za Uganda 600 mu mpaka zino, nga buli mwaka ewaayo obukadde bwa shs 200.
Amyuka Ssenkulu wa Centenary Bank Joseph Balikuddembe Lubega, yataddeko omukono kulwa Centenary Bank, ate Remmie Kisakye naassaako ku lw’Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu kitongole kya Majestic Brands.
Mu nsisinkano ebadde mu Bulange e Mengo , Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga agambye nti Obwakabaka bwakukolagana ne bannamikago nga Centenary Bank okusitula emizannyo emirala,omuli omweso, ekigwo n’emirala nti kubanga gyankizo eri enkulaakulana y’abavubuka n’abakadde.
Katikkiro mungeri eyenjawulo yeebazizza Centenary Bank olwokulowooza ku bavubuka mu Buganda ne Uganda yonna mu kusitula ebitone.
Ku lwa Centenary Bank Omuk Balikuddembe Joseph agambye nti mu nkolagana eno waliwo ebituukiddwaako bingi, nasuubiza nti Centenary Bank yakwongera okutambula n’Obwakabaka.
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda era nga ye muwanika w’Obwakabaka Past District Govnor Owek Robert Waggwa Nsibirwa naye yetabye mu nsisinkano eno, n’abantu abalala.#
Bisakiddwa: Kato Denis