Entanda ya Buganda ebumbujjira ku CBS 88.8 okuva ku monday okutuuka ku Friday, ku ssaawa ssatu n’ekitundu ez’ekiro.
Mu program ebaddewo nga 12.10.2023 Abamegganyi; Bukenya Francis yafunye obugoba 26 ne Kalule Godfrey afunye obugoba 21 nebesogga olumeggana olwokubiri, ate Sseppuuya Moses afunye obugoba 16 awanduse.
Bino bye bibuuzo ebibuuziddwa:
1. Waliwo ekitonde abaganda kyebawanuuza, kitambula n’ekita naye nga tekisengejja, kitonde ki ekyo? – Ekkovi.
2. Mu mubala gw’abeddira ente mulimu ekisoko ekigamba nti Ekyuma nkiridde n’omukimba ngulidde, Omukimba kye ki? – Omusaala.
3. Tuweeyo emizizo ebiri egyekuusa ku kiggya ky’Omuganda ne Mukamwana – Mukamwana talima kijja kya ssezaalawe era taziikwako.
4. Ekisoko ekitegeeza okufa – Okugenda e Kaganga.
5. Ebintu bibiri Abaganda byebeeyambisanga nga ssente enzungu tezinnajja kuno – Baakozesanga ensimbi enganda, n’okuwanyisiganya ebyamaguzi.
6. Erinnya Kisodde, likwanaganye n’omulimu gw’okulima lumonde – Omusiri gwa lumonde omukadde.
7. Mukolo ki ogukolebwa mu mulimu gw’obuyizzi ogwoleka obwenkanya bw’Omuganda – Okugabana ennyama.
8. Ani yawandiika ekitabo Omumuli mu Ddungu? – Emmanuel Kayondo.
9. Kwanaganya ekigambo “kkoonezi” n’omulimu gw’okutta enswa – Eriiso ly’enswa eribuukira ebweru w’omugala.
10. Mpa enjawulo mu nnyumba zino, Busitoowa ne Musooliini – Ennyumba ya Musooliini y’eserekebwa ng’eyiwa oludda lumu ate Busitoowa eyiwa enjuyi bbiri.
11. Mpaayo amasaza ga Buganda asatu agakwata ku nnyanja Nnalubaale – Buddu, Mawokota ne Busiro.
12. Essimu eyinza etya okwonoona abaana – Ssinga balabirako eby’obuseegu, n’okuyigirako okulimba.
13. Mpa emikolo ebiri Omuganda gy’akolera ku kitooke kya Nnakitembe – Kifugibwako omwana ow’okubiri (Omuwala) Bajjako emmero y’omukolo gw’okuzza omuzigo.
14. Olugero. Owensala mbi – Akwasa omwami mu nnyama.
15. Essomero ly’Omuzira mu Bazira wa 2007 liyitwa litya? – Cream side Junior School.
16. Ba katikkiro babiri ababadde ne Ddamula ku mulembe guno Omutebi nga bwebaddiringana – Eng. JB Walusimbi ne Dan Muliika.
17. Abaana ab’olulira olumu be baliwa? – Abaana abazaalibwa nnyaabwe omu naye nga bakikula kimu
18. Emigaso ebiri egy’okulima ebiggya mu Buganda – Kikuuma Oluganda n’okutujjukiza nti bali yadde baafa naye bakyali bantu baffe.
19. Obwakabaka bwatandiseewo kampuni esuubula emmwanyi yeriwa? – Mmwanyi Terimba LTD.
20. Erinnya ery’ennono ery’omwami ow’essaza akwasa omulangira alya engoma Engabo? – Mukwenda
21. Mpa erinnya eriweebwa Omutaka akulira ab’eddira ekika ky’amazzi g’ekisasi – Wooyo
22. Omwana ayonka ng’atakkuta aba alina bulwadde ki? – Akamiro
23. Mpaayo embeera bbiri obuyiiya bw’omuganda gyebweyolekera mu mulimu gw’okuyiisa omwenge? – Assaako omuwemba negukula, akamula embidde n’azijjamu omubisi.
24. Ani yawandiika ekitabo Nnasobola Ekitasoboka? – Waalabyeki Magoba.
25. Omuganda alina amagezi mangi era asobola okutega enkofu nga yeeyambisa kaamulali, akikola atya? – Amukolamu ensaano n’amuteeka mu nfuufu w’ezinaabira.
26. Mpa omuzizo omukulu ku kizibwe wo bwemutali ba kikula kimu? – Tomukwata mu kiseke.
27. Kalinda Luzzi ye mutaka akuuma oluzzi lwa Kabaka, Oluzzi olwo luweebwa linnya ki? – Kanywabalangira.
28. Mpa emigaso ebiri egy’endeku ng’ekyobuwangwa. – Tuginyweramu omwenge n’okukwatiramu enseenene.
29. Akawujjo kebeeyambisa nga banywa omubisi gwebaakasogola bakakola mu ki? – Mu kyayi.
30. Omuganda waliwo ensolo gyawanuuzaako nti yesinga ginnaayo omukisa, nsolo ki eyo? – Mmese.
31. Olugero: Katyonsanze, – Tesakirwa mbazzi.
32. Mpaayo amannya abiri agaweebwa omwana azaaliddwa ku kkubo – Kaamuwanda oba Kaalugendo.
33. Ekisoko kino kitegeeza ki, okukwata agampiteeyite – Bwemuba nga muvudde wamu nga mugenda wamu naye buli omu n’akwata kkubo lirye.
34. Emmere eno ey’omuttaka batera okugigeraageranya ku muntu omumpi ate nga munene, yeeriwa? – Ejjuuni. (Kimpi jjuuni)
35. Olugero: Nkejje-nfu – Ekira ennamu okutambula.
36. Ssinga jjajjaawo omukazi azaala kitaawo azaalayo omwana omulenzi mu bukadde bwe, oyo oba omuyita otya? – Taata.
37. Ekikolwa eky’okutendeka embwa eyige okuyigga kiweebwa linnya ki? – Okukangula embwa.
38. Abanywa emmindi balina ekintu muli ekibasikiriza okuginywa, kyeki? – Eddoowo.
39. Okujja obulembwe kisoko ekitegeeza okujja n’omuntu mu ngeri etali ya mirembe, tuwe ennono yaakyo – Ebiwuka ebiyitibwa ebirembwe bitambulira mu kibinja.
40. Olugero: Kyosiga owenya – Lubaale y’akyogera.
41. Okukifuuwa ng’okizza mu nda kisoko, kitegeeza ki? – Kwejjusa.
42. Olubugo omutaka Kakinda Ow’ekkobe lwakomagira Kabaka luva ku mutuba ki? – Olusika.
43. Emmese yayingidde akasuko omulundi gumu be – Ccu.
44. Ennaku zino abalimi ba kasooli basooka kunnyika kasooli mu mazzi n’asulamu, mpa ensonga bbiri ezibakozesa kino – Okumugema endwadde n’okumusobozesa okumera obulungi
45. Emigaso ebiri egy’obutiko eri Omuganda. Nva era bukozesebwa ne ku mikolo ng’okumala abalongo
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K